Amawulire
Olunaku lw’ebyobulamu lwakukwatibwa mu Buddu
Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’eby’obulamu mu Bwakabaka bwa Buganda ziri mu giya nene mu ssaza lya ssabasajja e Buddu emikolo emikulu gyegigenda okukwatibwa.
Ssentebe w’akakiiko akategesi Dr. Stuart Musisi ategezezza nga abasawo abasoba mu 40 bwebaasindikiddwa dda e Buddu okuva e Kmapala nga bakujanjaba abantu ba beene ab’e Maska ku bwerere.
Ategezezza nga enkambi z’ebyobulamu 2 bwezigenda okukubwa mu disitulikiti ye Rakai ne Lwengo olunaku olwaleero nga betegekera emikolo emikulu nga 29 November.
Omukulu w’essaza ly’e Buddu Pokino Vincent Mayiga ategezezza nga buli kimu bwekitambula bulunga nga kati balindiridde muteregga nga 29 ajanjabe abantu be.