Amawulire
ogwa Godi gumaze okuwulirwa
Okuwulira okujulira kw’eyali omubaka wa Municipaali ye Arua Akbar Godi ku kibonerezo ky’okutta Mukaziwe kuwedde nga ensalawo ya Kkooti ensukulumu kwakuweebwa gyebujja.
Munnamateeka wa Godi Suzan Wasabula mu kiwandiiko ky’awadde kkooti ategezezza nga kkooti ejulirwamu bweteetegereza bulunji kujulira kwa Muntu we n’okuddamu okutaganjula obujulizi obwamusibisa emyaka 25.
Munnamateeka ono era yemulugunya nga ekibonerezo kino bwekyawebwa omuntu we nga kkooti enkulu esinziira ku bujulizi obwali tebumatiza ku musango gw’obutemu.
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe kati baakuwa ensalawo yaabwe ku lunaku lwebajja okutegeeza.
Oludda oluwaabi lurumiriza nga Godi bweyakuba mukyalawe Rehema Nasur Caesar amasasi agaamuttirawo nga 9th-Dec- 2008 , ku kyalo Lukojo mu disitulikiti ye Mukono era n’asibwa emyaka 25 .