Olwali
Omwana omuto akedde okukwana
Edda abaana nga balwaawo okutandika eby’ekikulu.
Ssi bweguli ennaku zino , mu ggwanga lya America, omwana ow’emyaka ena awandiise ebbaluwa ng’asuuta akawala bwebasoma era eno erese bangi nga bawunikiridde.
Maama w’omwana ono Jennifer skinner, y’assizza ebbaluwa eno ku mukutu gwa yintaneti mu kwewunya kyokka wetwogerera ng’ekutte bangi omubabiro
Mu bbaluwa eno, akaana kano katenderezza kaako okuba akalungi okukira embalaasi era n’akasaba kamukyalire balya cheese
Akaana kano kagamba nti laavu gyekalina eri kanaako, akakuula amannyo.
Katusiibire nti kamanyi kyekogerako