Amawulire
Abaana abakulira amaka basusse
Abakulembeze ba disitulikiti ye Ssembabule balaze obweralikirivu olw’abaana abato abakulemberamu amaka gaabwe okweyongera.
Kino kivudde ku bazadde b’abaana bano okufa siriimu nga abasinga bafuuka bamulekwa nebalabirira bato baabwe.
Okusinziira ku akulira eby’obulamu ku muluka gwe Mitete Haji Hamid Babu Mpaka ebyalo ebisinze okukosebwa bwekuliko Nakaseta ne Mitete.
Agamba ekisinga okukwasa ennaku kwekuba nti abantu bomu kyaalo banji siriimu abaluma awatali ky’amanyi kyebamumanyiiko nga n’abasinga balowooza baba balogeddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa siriimu ono.