Amawulire
Abavubuka bazzeeyo e Luzira
Abavubuka b’ekisinde kya the Jobless youth’s bongedwayo ku alimanda e Luzira ku misango gy’okukuba enkungaana ezimenya amateeka.
Munnamateeka w’abavubuka bano Isaac Semakadde ,abadde asabye abantu be beeyimirirwe wabula omulamuzi Moses Nabende n’asaba oludda oluwaabi okuleeta abajulizi mu wiiki 1 yokka, omusango guno gufundikirwe nga kati baakudda mu kkoti nga 16 December.
Kinajukirwa nti abavubuka bano baakaalakaala ne ssanduuke y’abafu okutuuka ku kibumbe ky’amefuga g’eggwanga wano mu kampala.
Ate bbo bavubuka ababiri abavunanibwa okuyingiza obubizzi mu palamenti okuli Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja baakudda mu kkooti nga 16 December oluvanyuma lw’omulamuzi Erias Kakooza obutalabikako okutandika okuwulira omusango guno.