Amawulire
Abe Butabika basenguddwa
N’okutuusa kati abantu abaagobeddwa mu lutobazi lwe Butabika bakyatubidde nga bebuuza wwa ew’okulaga.
Bano poliisi ekedde kumenya maka gaabwe saako n’okubakubamu ttiya gaasi nga era kati banji batudde wansi bibasobedde.
Mu kavuvungano kano waliwo n’omwana owa wiiki 3 azuuliddwa nga ebitaka byamuyingidde mu nyindo ne mukamwa era addusiddwa mu ddwaliro okutaasibwa wabula nga ali mu mbeera mbi
Bano kati bemulugunya nga bwebataweebwa budde bumala kuva mu kifo kino.
Abantu bano basoba mu 150 nga era bagobeddwa ab’ekitongole ekilwanirira entobazi ekya NEMA.
Wabula yye Meeya wa Nakawa Ben Kalumba agamba kino NEMA kyakoze kimenya mateeka olw’okugobaganya abantu nga tesoose kwogera nabo.