Amawulire
Abaana b’okunguudo bakaaba
Waliwo ekibinja ky’abaana b’okunguudo abakwanze palamenti ekiwandiiko nga beemulugunya ku bukambwe obukozesebwa ababagoba ku nguudo nga era baagala bukome mbagirawo.
Abaana bano abavudde mu nzigotta ymu Kisenyi bakwasizza sipiika wa palamenti ekiwandiiko nebamusindira ennaku nga poliisi bwebatuntunza naddala mu biseera by’ekiro nga oluusi babakanda okuwaayo ensimbi okusobola okuyimbulwa.
Bano era balombojja nga bwebasiyagibwa abasibe abalala bebasanga mu buduukulu bwa poliisi kale nga kino kikosa eby’obulamu bwabwe.
Bano kati baagala ababaka ba palamenti okulaba nga bakulemberamu okuteekawo ebifo webasobola okubudabudibwa ssaako n’amassomero mwebasomera.
Sipiika Kadaga asuubizza abaana bano nga bwagenda okutunula mu nsonga zaabwe eri zikubaganyizibweko ebilowoozo mu palamenti
Wabula yye omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga bwebatanafuna kwemulugunya kw’abaana bano nga bwebaba balina kyebemulugunya baddembe okugenda ku poliisi nebayanja ensonga yaabwe