Amawulire
Eby’omwana eyabula biranze
Akola ng’omuwi w’amagezi eri gavumenti ku bya mateeka agamba nti tasobola kuwa magezi ku nsimbi mmeka ezirina okusasulwa abafumbo ababbibwaako omwana waabwe ku ddwaliro e Mulago.
Akiikiridde ssabawolereza wa gavumenti Bichachi Ojambo y’ategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe nti ssabawolereza w’eggwanga ali bweru ate nga yye tasobola kusalawo nga sekinnoomu.
Omwezi oguwedde, gavumenti yakkiriza okusasula Micheal ne Jennifer Mubangizi olw’omwana waabwe omulongo eyabbibwa
Kati omulamuzi Lydia Mugambe ataddewo olunaku lwa nga 4th omwezi ogw’okubiri okutandika okuwulira omusango gw’abafumbo bano ssinga gavumenti tebasasula.
Mubangizi ne Musimenta bawaaba abe Mulago ne Ssabawolereza wa gavumenti ng’ayagala kkooti eyise ebiragiro ebiragira abe Mulago okubawa omwana waabwe oba ssi kkyo babasasule