Amawulire

Aba Sudan ssibakuweebwa nkambi

Ali Mivule

December 10th, 2014

No comments

South Sudan Recue center

Gavumenti etegezezza nga bwetagenda kuteekawo nkambi yababundabunda bonna ndala eri abo abava mu ggwanga lya south Sudan.

Kino kiddiridde alipoota ya poliisi okutegeeza nga abasudani abasoba mu 200 bwebesogga Uganda buli lunaku nga bayita e Nimule.

Kati minisita omubeezi akola ku nsonga zababundabunda n’ebigwa tebiraze  Musa Echweru agamba enkambi zebalina zimala kale nga teri kwongerako ndala.

Agamba enkambi zino mulimu abanonyi bobubudamu abasoba mu mitwalo 10 naye nga mukyasobolera ddala okuteekebwamu abalala.

Anyonyola nga bwebateekawo akakiiko akeekenenya abanonyi bobubudamu nga tebanatwalibwa mu nkambi nga era kaakukola gwegumu ku nebano abyingira kati eggwanga.