Bya Ivan Ssenabulya
Abazadde nabasomessa balopedde omukubirizza wolukiiko lwe gwanga Rebecca Kadaga, nga bagala ekyokugambira abaana amakalenda gekizalagumba kikome.
Stephen Langa, akuliira ekitongole kya Family Life Network,akwasizza ekiwadiiko kino eri speaker kulwabazadde nabasomesa ategezezza nti abaana tebetaaga nkola zakizaala gumba wabula bawebwe Magezi nakubudabudibwa okusobola okubakulira mumasomero nga basoma.
Ategezezza nti abaana betaaga kubulirirwa nti okusoma kekisasize eranga ebikolwa byokwegandanga bakubisanga nga bakuzze bwebatyo nebasamaba palaemnti ekyusse Mateeka okusobola okukuma obuwangwa.
Kati ye omukubiriza wolukiiko omubaka . Rebecca Kadaga,asabye av=bazadde bulijjo okufangayo okuwa abaana babwe obudde obumala nga bogera kunsonga nga ezokwegandanga wadde nga balina okunonya ekyokulya nebisale byesomero.
Era agamba nabaana nabo balina okuvaayo beyame nti sibakwetaba mubikolwa byamukwano okutussa ekiseera ekitufu nga kitusse nga kino kyekyokufumbirwa.