Skip to content Skip to footer

Abadde ne siriimu yeetuze

HIV victims

Entiisa ebutikidde abatuuze b’okukyalo  Bugomola mu disitulikiti ye Rakai ,oluvanyuma lwokugwa ku mulambo gwa mutuuze munaabwe eyetugidde ku muti oluvanyuma lwokwekebezza neyesanga nga allina siriimu

Gerald Nkambwe y’asangiddwa nga alengejera ku muti kumpi n’oluguudo ,oluvanyuma lw’okweyimbamu ogwakabugu bweyakizudde nga alina siriimu.

John Mulindwa omu ku baliraanwabe, agambye nti  Nkambwe abadde yeeyisa mungeri etali yabulijjo era bewunyizza okukitegeera nti yeetuze.

Yye omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji awadde abantu amagezi okugenda eri abasobola okubabudabuda nga bafunye ebizibu baleme kwetta.

Leave a comment

0.0/5