Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lwa queens way.
Akabenje kano kavudde ku mmotoka ey’ekika kya super custom eremeredde omugoba waayo n’etomera omuti n’etta abantu 2 ku basatu ababadde okumpi.
Abamu ku berabiddeko n’agaabwe bategezezza nga dereva w’emmotoka eno bw’abadde agezaako okutaasa ow’ebigere abadde asala oluguudo wabula emmotoka n’emulemerera.
Wabula ye atwala poliisi ye Katwe Henry Sisiri ategezezza nga omupiira gw’emmotoka ogwabise bweguvuddeko akabenje kano.
Ategezezza nga omu ku bafudde bw’abadde ayanguyiriza okugenda ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe.
Emirambo gy’abagenzi gitwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejebwa sso nga n’alumiziddwa ali mu ddwaliro lyerimu ajanjabibwa.