Eyali ssentebe wa SC Villa Chris Mubiru bamusingizizza omusango gw’okulya ebisiyaga.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza y’asingisizza Mubiru omusango guno oluvanyuma lw’okwetegereza obujulizi obwaleetebwa abajulizi nga bumulumika okuvuga empanka.
Omu ku baagwa ku kyokya Emmanuel Nyanzi yoomu ku baawa obujulizi.
Nabwekityo omulamuzi asazizzaamu okweyimirirwa kwa Mubiru n’amusindika ku meere e Luzira okutuusa nga 18 September lw’agenda okumusalira ekibonerezo.
Omulamuzi era alagidde pasita Solomon Male nga y’omu ku bajulizi okuleeta Nyanzi mu kkoti ku lunaku lw’agenda okusalira Mubiru ekibonerezo.