
Loodimeeya wa kampala Ssalongo Erias Lukwago atongozezza ekibiina ekituumiddwa Platform for Truth and Justice.
Mu Lukiiko lwa bannamawulire lw’ayise, Lukwago agambye nti ekibiina kino akitonzeewo ng’ekisinde ekinalwanirira amazima mu DP kubanga obukulembeze bwaava dda ku mulamwa
Lukwago agambye nti abakulembeze mu DP abakulembeddwaamu Norbert Mao balemereddwa okuwuliriza enjuuyi ezitali zimu nga bakola byaabwe kale nga bakuyisa mu kisinde kino eddoboozi lyaabwe
Kyokka Lukwago akinogaanyizza nti akyaali munna DP kakongoliro era ng’abagamba nti ssi wa DP banyumyaamu bunyumya