
Ebipya byongedde okuzuuka ku mivuyo egyetobose mu kuzimba enguudo za Uganda.
Olwaleero akakiiko akanonyereza ku mivuyo gino kakizudde nti ensimbi eziweza obuwumbi 18 zeezaweebwa kkampuni y’ekikwangala okutwala ettaka eryaali mu ntobazi.
Kkampuni eyogerwaako emanyiddwa nga Excellent Assorted Manufacturers ng’eno nyini yyo ye Moses Magala.
nga yategeeza nti ye nanyini lutobazi lwe Nakigalala kyokka ng’olutobazi luno lwa gavumenti.
Bino byonna byekuusa ku luguudo oluzimbibwa olwa Kampala express highway.
Akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’enguudo ekya Uganda National Roads Authority nga kakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire keekakizudde nti yiika z’ettaka 148 eziri mu ntobazi zeezasasulirwa nga buli yiika yagulwa akakadde kamu mu emitwalo 20.