Skip to content Skip to footer

Ababatwala okukuba ekyeeyo mubetegereze

File Photo: Camisona wa Police Moses Binoga nga yogeera
File Photo: Camisona wa Police Moses Binoga nga yogeera

Bannayuganda abagaala okukuba ekyeeyo ebweru basabiddwa okusooka okwebuuza ku poliisi ku bibiina ebibatwala nga tebannaba kusimbula kuva wano.

Amagezi gano gavudde eri kamisona wa poliisi akola ku nsonga z’okukusa abantu Moses Binoga ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okulwanyisa okukusa abantu olunaku lwajjo.

Binoga agambye bannayuganda bangi bakukusiddwa okutuuka mu mawanga nga China, Dubai, United Arab Emirates era nga bangi batulugunyizibwa.

Agambye nti omwaka guno okuva lwegwatandika, bannayuganda 150 beebakukusibwa n’asaba bannayuganda okugenda ku kitebe kya minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okumanya kkampuni entuufu n’ezebicupili.

Leave a comment

0.0/5