
Omuyimbi Daniel Kazibwe amanyiddwa enyo nga Raggae Dee ajjeeyo empapula okwesimbawo mu kamyufu ka NRM ku bya Lord Mayor bwa Kampala.
Raggae ye muyimbi ow’okubiri okuyingira eby’obufuzi mu NRM ng’eyasooka ye Judith Babirye ayagala okukiikirira disitulikiti ye Buikwe mu palamenti.
Bw’abadde yakamala okujjayo empapula Raggae Dee aweze okukolera ekibiina kya NRM,bannakampala era ng’essira wakulissa mu kutumbula obuyonjo, okugogola emyala, wamu n’okulaba ng’abakulembeze bakwatagana n’abantu babulijjo.
Akakiiko k’ebyokulonda mu NRM kakukomekkereza okuwandiika abagaala okuvuganya mu kamyufu k’ekibiina ku lunaku lw’okutaano olwa wiiki eno.