Akakiiko akalondesa mu ggwanga kalangiridde nti abantu okulonda ssi bakukozesa ndagamuntu nga bwekibadde kitegekeddwa
Kiddiridde okukizuula nti abantu bangi tebeewandiisa kufuna kaadi zino ate nga n’abalala tebazifunanga.
Kati abagenda okulonda bakubakebera ku lukalala olukadde okulaba oba alonda yooyo nga bakozesa ekifananyi ekiriko.
Kino kirangiriddwa omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa