
Omusajja omu afudde bw’abadde nebanne ababundabunda abali eyo mu 1500 nga bagezaako okusalinkiriza bayite mu mudumu ogutwala amazzi okwesogga eggwanga lya Bungereza.
Bano babadde bakyali mu ggwanga lya Bufaransa nga poliisi egezaako okubatangira okusala.
Kino kizze nga ssabaminisita w’eggwanga lya Bungereza David Cameron ky’ajje asuubize nga bw’agenda okukwasaganya embeera y’abantu bano abagezaako okusalinkiriza.
Ono Muntu wa mwenda okufiira mu mudumu guno nga era kitegerekese nti kiroole kimutomedde bw’abadde alingigiriza ng’ayagala okusalinkiriza okudda ku ludda lw’oluguudo olulala.
Omugenzi atemera mu gy’obukulu nga 30 nga era munansi w’eggwanga lya Sudan.