Skip to content Skip to footer

Essengejjero ly’amafuta lijja

File Photo:Edongosezo lyamafuuta
File Photo:Edongosezo lyamafuuta

Uganda eteekateeka kuzimba ssengejjero ly’amafuta mu myaka 3 nga eggwanga lyetegekera okutandika okufulumya amafuta mu 2018.

Minisitule y’ebyamasanyalaze n’obugagga obukusike  era yakuteeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’amafuta eya Total okuva e Bufaransa ne Tullow Oil eya Bungereza nga betegekera okutandika okutunda ku mafuta gano mu 2018.

Kino kibikuddwa mu nsisinkano ebaddewo wakati w’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni n’amyuka akulira kampuni ya Total mu Africa Jabier Rielo.

Ensisinkano eno era yetabiddwamu ne minisita w’ebyamasanyalaze Irene Muloni .

Leave a comment

0.0/5