
Abantu abasoba mu 600 abaasala eddiiro nebegatta ku kibiina kya NRM batiisizza okuddayo mu bibiina byabwe .
Bano baagala abakulira ekibiina kya NRM babasisinkane mu butongole nga bamemba b’ekibiina.
Nga bakulembeddwamu Apollo Jaramogi, bategezezza nga bwebasalawo okuva mu bibiina byabwe omwaka oguwedde wabula tebabalabawo.
Wabula ssentebe w’ekibiina kya NRM e Tororo Yeri Apollo Ofwono asabye abantu bano okusigala nga bakkakamu kubanga okudda mu bibiina byabwe kijja kulaga nti baalina ebigendererwa byabwe ebirala ssikuwagira kibiina.