Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Nkunyu mu district ye Lwengo baguddemu ekyekango, mutuuze munnaabwe bwasirikidde mu nnabbambula womuliro ogukutte ennyumba ye.
Namukadde Alice Kateregga omuliro gumwokezza okutuuka okufuuka ebisirinza.
Omwogezi wa polisi mu maserengeta ga Uganda, Lameka Kigozi akaksizza akabenje kano, nategeeza nti batebereza okuba nti omuliro gwavudde ku kataal aka Ttadooba.