Amawulire

Aba NRM baddembe okugenda mu maaso ne ttabamiruka waabwe

Ali Mivule

December 12th, 2014

No comments

sole candidates

Tewakyaali kiyinza kulemese ttabamiruka wa kibiina kya NRM kugenda mu maaso.

kino kiddiridde ababaka ba palamenti 2 abaabadde baagala kkooti emuyimirize okubigyamu enta.

Ababaka  Brenda Nabukenya ne  Joseph Sewungu nga bayita mu mannamateeka waabwe Jude Mbabaali bategezezza kkooti nga bwebabivuddemu kubanga kkooti yayongezaayo okuwulira okwemulugunya kwabwe okutuusa wiiki ejja nga ate olukungaana luno lujja kuba lutandise kale nga okwo kumala biseera kwenyini.

Wabula Mbabali ategezezza nga okwemulugunya okwasooka okuwakanya eky’okutegeka ttabamiruka ono mungeri emenya amateeka bwekukyali mu kkooti era yakusalawo ku nsonga eno.

Ababaka bano baddukira mu kkooti nga baagala ttabamiruka w’ekibiina ono ayimirizibwe kubanga abamutegese tebategeeza ku kakaiiko k’eby’okulonda nga bwekilambikiddwa mu mateeka sso nga bawakanya n’ekyaba RDC okwetaba mu kusunsula abakungu abagenda okwetaba mu ttabamiruka ono.