Amawulire

Kalusu awedde e Mbale abaayo nebesunga enyama ya kulisimansi

Ali Mivule

December 17th, 2014

No comments

cattle

Abantu mu disitulikiti ye Mbale bafunye akaseko ku matama oluvanyuma lw’envumbo ku kutambuza enyama y’ente n’embuzi okugibwawo.

Bano babadde bamaze emyezi 6 nga teri kukomba ku nyama lwakirwadde kya Kalusu nga era envumbo eno yali etwaliddemu disitulikiti 25.

Akulira eby’ebisolo mu disitulikiti eno Dr. George Were ategezezza nga bwebazze bafuyira ente n’embuzi mu bitundu bino nebakizuula nti kati ekirwadde kino baakitudde ku nfete.

Lino ssanyu lyamaanyi eri abatuuze naddala nga kulisimansi ekubye kkoodi era bakwerira ku kanyama.