Amawulire

Museveni alabudde abavubuka

Ali Mivule

December 23rd, 2014

No comments

sevo

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni asabye abavubuka okusitukiramu balwanyise  ebbula ly’emirimu nga baboola abo bonna abalemesa amakolero okutandikibwa wano mu ggwanga.

Museveni agamba abasimbira ekkuuli amakolero gano bebabalemesezza okufuna emirimu kale nga basaana okubeera abegendereza n’abantu ab’engeri eno.

Bino pulezidenti y’abyogedde ateeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’abakyayina eya  Guangzhou Dongsong Energy nga bano bagenda okuyamba okuyikuula eky’obugagga lya Phosphate mu osukuru  nga era pulojekiti yakumalawo obukadde bwa doola 620

Museveni y’ategezezza nga yye bwakooye okulwanira abavubuka bano entalo zaabo nga kati balina okwerwanako kubanga yye takyanoonya mulimu.