Amawulire
Abavuganya gavumenti begaanye Ssejusa
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okwetaba mu nteekateeka za munnamagye Gen Ssejusa okutuusa nga abanyonyodde engeri gavumenti gyeyamukkirizzamu okudda mu ggwanga nga ate y’ali yamwewerela okumukwata.
Ssejusa y’abadde ayise abavuganya gavumenti bamwegatteko nga adda mu maka ge e Naguru sembabule gy’abadde.
Nga bakulembeddwamu ssenkagale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa, bano bagamba amadda ga Ssejusa gakyaliko akabuuza kale nga tebayina kutijja naye nga yandiba n’akakodyo ne gavumenti.
Basalirwa agamba era tebayinza kumenya mateeka nga begatta ku ssejusa akyaali munnamagye atasaanye kwetaba mu byabufuzi.