Amawulire

Omuzigiti gugaddwa.

Ali Mivule

December 31st, 2014

No comments

 

noor

 

Poliisi amakya ga leero ezinzeko omuzikiti gwa  masjid Noor ogusangibwa ku luguudo lwa William Street ,oluvanyuma lw’ekibinja ky’abasiramu okugulumba amakya ga leero.

Kigambibwa nti waliwo ekibinja ky’abasiramu ekikedde okuvva e kibuli nekyegalira mumuzigiti guno ,ekiwaliriza ababadde bagenze okusaala, okwagala okulwaana, era polisi nebiyibgiramu.

Bino bijjidde mu kiseera nga abakulembeze ba Basiramu bongera okwesongamu enwe kunfa yabanaabwe.

Abakulembeze  b’abasiramu 2 okuli Sheikh Abdu- Kadri Muwaya ne Sheikh Mustafa Bahiga  bebakatibwa mu banga lya nnaku 3.

Wabula getwakafuna galaga nga police bwesobode okugula omuzigiti guno nga yeyambisa ebimotoka byayo, era nga ababade begalide munda bonna bagidwaayo.