Bya Ben Jumbe.
Bino nga obitadde kubbali omukulembeze we gwanga naye aliko obubaka bawerekerezza banna-uganda nga bakayingira omwaka guno 2019.
Ono agambye nti mu mwaka guno 2019 tagenda kuddamu kugumikirizza banabyabyfuzi abatalina mpisa , naddala abasalawo okwefuula abemputtu.
Bwabadde ayogerako eri bannayuganda nga asinziira mu makaage e Rwakitura, ono agambye nti waliwo banabyabufuzi abakozesa enkola ezimenya amateeka gamba nga okulwana , okuleetawo obusasamalo mukifo kyokwetaba mu by’obufuzi eby’emirembe.
Kati ono agambye nti buli ayagala okwetaba mu by’obufuzi alina okubeera omulambulukufu mu kyakola sosi kwekweeka mu makubo ag’enjawulo, era nga bino bikomye mu 2018.