Bya ben Jumbe ne Ruth Anderah.
Mukiro ekikeeseza olwaleero kibadde kijjobi nga ensi yonnna ejaguza okwesogga omwaka omujja ogwa 2019, kko n’okusiibula omukadde ogwa 2018 mu mirembe.
Newankubadde abamu omwaka baagumazeeko nga bali mu makanisa basinza, abamu baabade mu bivulu ate abalala mu mabaala nga bekeserere magengere.
Esaawa bwezikoonye mukaaga gwenyini wano mu kampala egulu likutte ebitulika, anti obwedda buli kasonda katulisa fireworks, nga akabonero akokuyingira omwaka- olwo enduulu neesanikira.
Wabula bino nga bigenda mu maaso ye Ssabasumba w’esaza ekulu elya kampala Dr Cyprian Kizino Lwanga akubiriza abantu mu gwanga okugenda mu malwaliro beekebeze endwadde ez’enjawulo sosi kulinda kulwaara.
Bino Dr Lwanga abyogeredde mu ekitambiro kya misa ekikomekereza omwaka gwa 2018 ku ekereziya ya petero omutukilivu ensambya.
Ono assabidde egwanga lifune emirembe mu mwaka gwa 2019, era nakubiriza n’abantu okulwanyisa obwavu nga besigamye ku Katonda.