
Abatwala eddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 bagamba balina essuubi nti eddwaliro lino lyakulongooka. Omukulembeze w’eggwanga yasuubiza okuyambako mu kuzimba ebizimbe by’eddwaliro lino kisobozese minisitule y’ebyobulamu okulisuumusa okudda ku ddaala ly’eddwaliro eddene wabula kati kitutte ebbanga. Akulira eddwaliro lino Dr. Godfrey Kasirye ategezezza nti wadde Munisipaali ye Mukono eriko waadi y’abakyala ab’embuto ey’ebitanda 30 gy’ezimba naye tekimala. Akubidde pulezidenti omulanga okubajjukira atuukirize ekisuubizo kye okuzimba ebizimbe ebipya ebiwerako. Ku nkomerero ya wiiki ewedde omulabirizi we Lugazi omugya Christopher Kakooza yatuseeko mu ddwaliro lino mu kulambula kw’aliko naye n’akubira gavumenti omulanga okulowooza kuky’eddwaliro lya Mukono Health Centre 4 kuba abalwadde bangi abalyettanira.