Skip to content Skip to footer

Abakyala batunda mama kit

File Photo: Abakyala nga bawebwedwa mama kits
File Photo: Abakyala nga bawebwedwa mama kits

Mu disitulikiti ye Lira , abakyala b’embuto bagenda okufuna ebikozesebwa mu kuzaala kyokka nebababitunda okufunamu ejjamba.

Abakyala aboogerwako beebali mu divizoni ya leerwe ng’ebikozesebwa bino babiggya ku Ayago health centre III nebabitunda mu malwaliro ge miriraano ku shs omutwalo gumu n’ekitundu.

Abakyala bano nno olumala nebaddukira mu ddwaliro ekkulu erye Lira nebaddamu okufuna ebirala ku bwereere

Ssentebe w’egombolola ye Ngetta George Ekwee akkirizza nga bwebafunye edda amawulire gano nga n’abakyala abamu bakkirizza okutunda bu maama kit buno.

Ono wabula alabudde nti anakwatibwaako kakumujjutuuka.

Asabye abakyala  bulijjo okuloopa abo abatunda ebintu bya gavumenti.

Leave a comment

0.0/5