Skip to content Skip to footer

Temwewola ssente- Muka Museveni

File Photo : Abakaramoja
File Photo : Abakaramoja

Minisita  w’ensonga za Karamoja era mukomukulembeze w’eggwanga  Janet Kataha Museveni alabudde abavuzi ba taxi n’abagoba ba bodaboda okwewala okwewola ensimbi buli kiseera wabula beterekere okusobola okwetandikirirawo emirimu emirala.

Nga ayogerako eri abantu bano, mukyala Museveni y’ategezezza nga basajja battu bu bizinesi bwabwe bwebutwalibwa abawozi b’ensimbi oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula amabanja agabayitirirako.

Mungeri yeemu abawadde amagezi okwewala enkayana wabula bakwatagane batandikewo ebibiina by’obwegassi ebijja okubayamba okwekulakulanya.

Leave a comment

0.0/5