Bya Sadat Mbogo.
Waliwo abantu babiri ababadde bagenze okubba emotoka n’essente abattiddwa abatuuze kukyalo Kataba mu muluka gw’e Kanyike e Kamengo mu district ey’e Mpigi.
Abattiddwa bategeerekese nga Marco ne Ronnie nga baano babade bavubuka ba kukyalo.
bano okutibwa babade bagenze kubba Mzee Ssenoga Joseph era nga basoose kumutematema okubula okumutta.
Okusinziira ku batuuze, ababbi bano baalumbye Mzee Ssenoga ku ssaawa nga munaana mu kiro era kigambibwa baabadde bana kyokka ababiri nebadduka, abatuuze kwekuzinduukiriza ababiri bano nebabakuba emiggo n’amayinja okutyuusa okubatta.