Bya Samuel Ssebuliba.
Omubaka we Kyadondo Robert Kyagulanyi ategeezeza nga bwanakuwalidde banaffe abataasobodde kumalako mwaka gwa 2018 olw’enonga ez’enjawulo, wabula neyebaza mukama olw’abakyali abalamu newankubadde 2018 abadde ajudde ebisoomoza.
Ono agambye nti ebirumira byonna ebibadde mu mwaka guno bigwana okwongera okunyweza bannayuganda okulaba nga Uganda erongooka naddala munfuga etambulira ku mateeka.
Ono agambye nti mu mwaka guno oguwedde mwaakizuulidde nti abali mu government bakambwe era nga betegese okusibira bannayuganda mu kyaayise obuwambe mu ngeri yonna, wabula nga kino tekigenda kumukakkanya mu kaweefube gwalimu ne bannayuganda okulaba nga Uganda efuuka ekifo ekyeyagaza.