Bya Shamim Nateebwa.
Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Kitaffe mu katonda Rev. Stanley Ntagali asabye government okuyita mu kakiiko akakola ku by’etaka efube okulwanyisa ekibba taka eky’eyongedde mu gwanga, ekitusiza bannayuganda bangi okufuka e mombozze mu gwanga lyabwe.
Bwabdde abuulira mukusaba okuguddewo omwaka wano mu kanisa Namirembe ,Kitaffe mu katonda Stanly Ntagali agambye nti ekibba taka kituuse ku ntiko nga abantu batuuse n’okwesenza ku taka ky’e kanisa , kko netaka ly’abamulekwa
Ono yebazizza omukulembeze we gwanga okulonda akakiiko akakulirwa Justice Catherine Bamugemeirwe kanonyereza ku byetaka, kyoka naagamba nti kano kagwana kasukkewo mu kunonyereza , abasangiddwa nga bali kutaka eribbe bavunanibwe