Amawulire

Aba Taxi beedimye

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Taxi drivers strike

Waliwo ekiwayi ky’aba taxi mu keediimo akali e Kayabwe abavudde mu mbeera nebasalawo okusuula emisanvu mu bubuga obw’enjawulo ku luguudo lw’e Masaka nga bano bagenda bayiwa abasaabaze abatikkiddwa mu motoka ezewaggudde eza paaka  y’e Kayabwe nezisalawo okukola.

Waliwo n’emotoka ekubiddwa n’eyiibwa endabirwamu ku siteegi  y’omu Kibukuta ng’eno ebadde etikka ng’egenda Kampala.

Mu bitundu abayiwa abasaabaze mwebalabiddwako, kuliko Equator, Nabusanke, Mbizzinya, Mitalamaria, Kyabadaaza ssaako ne Kamengo.

Bbo baddereeva nakati bakyalindirira olukiiko olwabasuubiziddwa ab’ebyokwerinda newankubadde nga kiwuliddwako nti waliwo akafubo ak’ekyama akalimu abantu abalondemu abatono ku njuuyi ezikaayana n’ab’ebyokwerinda mu kifo ekitamanyiddwa.