Skip to content Skip to footer

Abagambibwa okubeera abatujju bazze mu kkomera

Terror suspects again

Abantu 10 abaakwatibwa omwaka oguwedde ku misango gy’obutujju bongeddwayo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lwamunnamateeka w’oludda oluwaabi Edward Muhummuza okusaba kkooti akadde akalala okwongera okunonyereza ku nsonga eno.

Bano babadde maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Sanyu Mukasa era omusango n’agwongerayo okutuusa nga 19th January omwaka guno.

9 ku bano banansi b’eggwanga lya Somalia nga kuliko abakyaala 2 ne munanasi w’eggwanga lya Kenya 1.

Bano bavunaanibwa kuyamba kabinja k’abatujju aka  ba Al-shabaab

Leave a comment

0.0/5