
Ab’ekibiina kya DP beegaanye Loodimeeya Erias Lukwago nga bagamba nti takyaali munna DP.
Ssenkaggale wa DP Norbert Mao agamba nti Lukwago yava mu kibiina mu mwaka gwa 2011 lweyasalawo okwesimbawo nga namunigina ku bwa loodimeeya.
Mao ategeezezza nga bw’ajja okujja enta mu mukago gw’abavuganya ogwa The Democratic Alliance ssinga ekibinja kya Lukwago bakikkiriza mu mukago guno
Mao akinogaanyizza nti ttabamiruka wakubaawo ku lw’okuna luno k’abe lubaale oba katonda
Olunaku lwajjo, abakulembeze ba DP abatali bamu bakungaanye nebalonda Erias Lukwago ng’omukulembeze waabwe era nebalayira nti bakwekutula ku DP ssinga ttabamiruka tayimirizibwa