Amawulire
Abasomesa bakaaye ku kubakyuusa
Abasomesa wansi w’omukago gwaabwe ogwa UNATU batabukidde minisitule y’ebyenjigiriza olwokukyusakyusa abasomesa.
Kiddiridde minisitule eno okukyusakyuusa abasomesa okuva mu lusoma olujja ngamasomeroa gaasinze okukosebwa kwekuli Makerere College ne Kings College Buddo.
Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kino kikosa amasomero era nga gavumenti yandibadd ekyewala.
Wabula akola nga kamisona akola ku masomero ga seniya, Benson Kule agamba nti okukyuusa abasomesa kya bulijjo era nga kikolebwa buli mwaka okuyamba okutumbula omutindo.