Amawulire

Eyayokebwa aci ayongera kuba bubi

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

acid victim in pain

Abantu basatu abagambibwa okuyiira omusuubuzi w’omu kampala acid ku luguudo lwa Northern Bypass baddiziddwaayo ku meere e Luzira.

Irene Namanda yayiirwa acid bweyali ne bba nga bava okutuuma bebi waabwe erinnya era nga kino kyabaawo ng’omwaka oguwedde guggwaako

Abasatu bano kuliko ne bba w’omusuubuzi ono Kassim Kakaire gwebalumiriza okwagaala okutta mukyala we olwo yezze emmaali ye

Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi we Nakawa  David Mafabi abalagidde bagira badda e Luzira okutuuka nga 19 omwezi guno.

Munnamateeka wa gavumenti Doreen Erima ategeezezza ng’okunonyereza bwekukyagenda mu maaso nga y’ensonga lwaki babadde tebakyasobola kugenda mu maaso.

Munnamateeka ono agambye nti omukyala gwebayiira acid akyaali bubi nga kati n’amaaso gavuddemu nga n’olususu lwe lugagambuka lwokka.