Amawulire
Essundiro ly’amafuta erya Fuelex liggaddwa
Ekitongole ekiwooza kigadde essundiro ly’amafuta erya Fuelex wali e Nalukolongo nga ekiriiro ky’emmere ne supamaketi ebibaddeko tebabitalizza.
Akulira okungaanya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa agamba bano babajibwa omusolo gwa bukadde 70 wabula nga bazze bakyuusakyusa obukulembeze bw’essundiro lino okwebalama omusolo.
Essundiro lino lyerimu lyaagalwako ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu lw’amafuta agatatukagana na mutindo.
Mu bikwekweto byebaliko , ab’ekitongole kino era bagadde edduuka lya Mayimuuna Nanfuka ku Arua Park lwabukadde obusoba mu 200 ezimubanjibwa mu misolo.
Ebikwekweto bikyagendera ddala mu maaso mu Kampala.