Ebyobulamu
Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise
Okugezesa eddagala erinayamba okujjanjaba obulwadde bwa Ebola kutandise mu ggwanga lya Liberia.
Eddagala lino erimanyiddwa nga Brincidofovir ligezesebwa ku balwadde ba Ebola abeewaddeyo bokka
Bbo abatakkiririza mu ddagala lino tewali akakakiddwa nga baweebwa ddagala lya bulijjo okubakkakkanya.
Bannasayansi okuva mu yunivasite ye Oxford abaakulemberamu okunonyereza ku ddagala lino bagamba nti byebanajja mu kugesa ebisooka byakufulumizibwa mu myezi mitono
Okugezesa eddagala eddala erimanyiddwa nga Favipiravir nakwo kwatandika mu ggwanga lya Guinea mu December w’omwaka oguwedde.