Skip to content Skip to footer

Eddagala ly’embwa libuze Karamoja

A woman walking past a group of stray dogs resting under a tree in Moroto Municipality (photo by Steven Ariong)

Abantu mu bitundu bye Karamoja basattira lwabbula lya ddagala lyabulwadde obuva ku kulumibwa embwa.

Embwa nyingi ziri mu ggobe mu bitundu bino nga era banji balumiddwa wabula olutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Moroto bavaayo tebafunye bujanjabi olw’ebbula ly’eddagala ly’obulwadde bwa rabies.

Omu ku basawo mu ddwaliro lino atayagadde kwatukirizibwa manya ategezezza nga abantu abasoba mu 30 bwebaaletebwa nga balumiddwa embwa wabula tebaafuna bujanjabi.

Yye akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno  Dr. Micheal Omekea akakasizza ekizibu kino wabula n’ategeeza nga bwebagenda okutumya eddagala lino okuva eri ekitongole ekitereka eddagala.

Leave a comment

0.0/5