Amawulire
Asudde omwana mu kabuyonjo
Poliisi e Lugazi ekutte omukazi wa myaka 35 lwakuzaala mwana n’amusuula mu kabuyonjo
Aisha Nakyazze nga mutuuze ku kyaalo Kikoma e Lugazi agambye nti abadde tasobola kulabirira mwana ate nga bba yamwegaana ng’agamba nti yye tazaala.
Nakyazze okukwatibwa kiddiridde abatuuze okumulaba nga takyali lubuto ate nga n’omwana talabikako.
Ssentebe w’ekyaalo John Musoke agambye nti omukyala ono yazadde bulungi mu ddwaliro lye Kawolo era n’asiibulwa kyokka kibaweddeko okuwulira nti ate omwana amutuusirizza mu kabuyonjo.