Amawulire

Munnayuganda asirikkidde mu muliro

Ali Mivule

January 7th, 2015

No comments

fire brigade

Waliwo munnayuganda asirikkidde mu muliro ogukutte akatale mu ggwanga lya south Sudan.

Omuliro gw’afiiriddemu gukutte katale e Nimule.

Omugenzi ategerekese nga Geofrey Olwenyi nga we Nebbi.

Ayogerera poliisi mu bitundu bye Aswan Patrick jimmy okema, atubuulidde nti ono omulambo gwe  gusangiddwa gwa guweddewo, era nga mu kaseera kano buli kisoboka kikolebwa okuzza ebisigalira bye.

Omuntu omu y’akwatiddwa nga kiteberezebwa nti alina ky’amanyi ku muliro guno.