Amawulire
Ebya NRM bijulidde
Okukakasa olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM olujja kwongezeddwawo okutuusa ssaawa 7 ez’emisana.
Abana bano baalondebwa mu December w’omwaka oguwedde nga kuliko Kasule Lumumba nga ssabawandiisi, Richard Todwong omumyukawe, Rose Namayanja nga omuwanika sso nga yye Dr. Kenneth Omona ye mumyukawe.
Bano baalondebwa oluvanyuma lwa ssemateeka w’ekibiina kino okukyuusibwa nga kati ssentebe w’ekibiina y’alonda abana bano.
Mungeri yeemu kkooti etaputa ssemateeka eyongezzaayo okuwulira okusaba kw’omu ku munakibiina kya NRM ayagala kkooti eyimirize okukakasa obukulembeze bw’ekibiina kino obujja .
Kati yakusala eggoye ku nsonga eno ku ssaawa munaana n’ekitundu.
Mu bimu ku bifo ebivuddeko embeera eno kye kya ssabawandiisi w’ekibiina ekyalimu eyali ssabaminisita Amama Mbabazi .
Olunaku olw’eggulo bannamateeka b’ekibiina kya NRM baasabye kkooti egobe okusaba kuno kubanga buli kyakolebwa kyaali mu mateeka nga baagala era Benjamin Alipanga eyawaaba abasasule n’ensimbi zebasaasanyizza.
Alipanga ayagala n’ebyasalibwawo e Kyankwanzi omukulembeze w’eggwanga okwesimbawo awatali amwesimbako mu kibiina mu kulonda kwa 2016 nabyo bisazibwemu.