Skip to content Skip to footer

Omuliro ku ssomero- abayizi 20 bakwatiddwa

File Photo:Abayizi nga bali mukibina
File Photo:Abayizi nga bali mukibina

Abayizi 20 beebakwatiddwa lwakwokya ssomero lya Mbogo Mixed Senior Secondary School e Kawanda.

Abayizi bano bateekedde ebisulo by’abayizi bibiri omuliro era abayizi abasoba mu 100 beebakoseddwa.

Poliisi etuuse mu budde okusobola okutaasa ebisulo ebirala bina.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti abayizi bano abawala abookyezza ekisulo babadde beesasuza batwala ssomero olw’okubagaana okwambala sikaati enyimpi.

Onyango agamba nti abaana abakwatiddwa bakubayamba okuzuula ebisingawo ku kikolwa kino kyokka nga tewali muyizi akoseddwa.

Leave a comment

0.0/5