
Okulwanagana wakati w’abayisiraamu ssikwakuggwa kati.
Olukiiko oluyitiddwa akulira poliisi Gen Kale Kaihura terugenze mu maaso oluvanyuma lw’ekibinja kye Kibuli obutawereeza bakiise
Abakulembeze b’abatabbuliiki batuuse ku ku poliisi e Kireka okwetaba mu Lukiiko luno kyokka nga terusobola kugenda mu maaso.
Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura naye tabaddewo ekirese abatabbuuliki nga basobeddwa.
Bano ababadde bakulembeddwaamu Yahaya Mwanje agamba nti kati bakutandika okwekalakaasa okulaba nti eddoboozi lyaabwe liwulirwa
Abatabbuuliiki bemulugunya ku banaabwe abakwatibwa entakera