Amawulire
Abe Ankole bagaala bugabe
Abalangira n’abambejja mu bugabe bwe Ankole battukizza okusaba nti obukulembeze bwaabwe obw’ennono bukomezebweewo.
Bano bakulembeddwaamu katikkiro waabwe Dr. William Katuramu nga bategese emisomo mwebanaayita okusomesa abantu mu Ankole ku bulungi bw’okubeera n’obugabe
Ng’ayogerera mu musomo ogusoose , katikkiro agambye nti abantu abatali bamu bakkirizza nti obukulembeze buno bwetaagisa
Ssentebe w’ekitundu kye Nyamitanga Jonas Nuwagaba agambye nti obugabe buno tebujja kujjira ku mukeeka wabula buli omu alina kulwana.