Skip to content Skip to footer

Abatembeeyi b’emmere bakwatiddwa

Food vendorsPoliisi ye Mulago ekutte abantu basatu ababadde baguza abalwadde emmere enjama.

Kuno kuliko Catherine Nakibuuka abadde atembeeya obuugi mu kidomola, Jimmy magezi ne nyina Jennifer Nakato ababadde batembeeyeza emmere mu buveera. 

OC we Mulago, Richard Okello agamba nti ekikwekweto ekiyodde bano bakikoze oluvnayuma lw’okukizuula nti abalwadde bangi babadde bawona naye ate nebaddamu okufuna embiro.

Ekikwekweto Okello agamba nti kyakugenda mu maaso kyokka ng’abakwatiddwa bwaggulwaako misnago gyakutunda mmere njama.

Leave a comment

0.0/5